|
|
|
About us Programmes
The Future
Tulina akakundi ka bamemba abatandiikawo NVIWODA akamalilivu mu kutwala NVIWODA mu maaso. Buli kiseera abakyala bayigilizibwa emisomo emigya okusinziira ku bwetaavu. Ekibiina kikola embalilira yebitabo byakyo buli mwaka nenkola enungamu egobererwa mu nkozesa ensimbi ezifunibwa nenondoola ya buli kimu mu budde bwakyo. Abakyala bagala okuyiga wamu nokusa mu nkola byebaba bayigilizidwa. Ekibiina kilina amateeka kwekitambuliza emirimu era buli luvanyuma lwa banga gere abakyala batuula nebadamu okugetegereza. Tulina enkola ewola abakyala ensimbi era mwebayigila nokweterekera era bangi bagobolodde munkola eno. Ba member bagalana era bayambagana okulaba nga buli omu akulakulana. Tukyayongera okunonyereza ku mikisa egiyinza okuyamba okulakulanya abakyala. NVIWODA okusinga yeyimilizawo yokka.
|
||||