ENTEGEKA KU BYA TEKINOLOGIYA

BAKYALIRA BANNABWE MU BITUNDU EBIRALA NABO NEBATUKYALIRA

LINKS

EBIKYATULEMESEZA

AMANYI GA NVIWODA

EBIFUNIDWA

 

 

Homepage

 About us   Programmes   The Future 

LINKS

Global Fund for Women bweyali ejaguza okuweza emyaka 15 bukyanga etandikibwawo, mu mwezi gwa December omwaka gwe 2002 NVIWODA kye kimu ku bibiina byabakyla ekyawebwa ebirabo olwokuwagila n'okuyamba ebibiina byabakyala mu Uganda, ebitasobola okufuna ensimbi.

NVIWODA era eyambye nnyo mu kutankibwawo kwe bibiina mu bitundu CBO's wamu n'okubikulakulanya, okugeza United Women Development Association (UWODA), Kabaawo Women's Savings and Credit Development Association (KWOSCDA), Reach 0ut to the Wives of the Solidiers (RWOSA), Mperre Indigeneous Initiatives for Development (MIID).

Ekigendererwa kya NVIWODA kwekutuuka ku bakyala abali mu byalo abetaagira ddala obuyambi mu kwezimba, batendekebwe mu by'obukulembeze ebyobusuubuzi nemirimu emirala egy'etaagisa okusinziira ku bwetaavu, kibayambe okufuna eddembe lyabwe ery'obwebange.

NVIWODA ekolaganira wamu n'ebibiina ebirala nga National Association of Women NGO's mu Uganda, (NAWOU), Uganda Small Scale Industries Association (USSIA).

Development Network of Indigeneous Voluntary Association (DENIVA). N'ebirala bingi byetukyaliragana nabyo.

NVIWODA omusingi gwayo esinze kuguzimbira mu kwenyigira mu misomo wamu n'okukozesa ebyo byeba eyize mu misomo egyo.

Ekibiina era kibadde kyetaba mu myoleso nga ogwomulundi ogwokuna ogwa East African JUA-KALI ogwaliwo mu November 2002, 0gwa Uganda ogw'ebyobusubuzi ogwaliwo mu October nga 8 ogwali ogwe 10, mu mwaka 2002 n'ogwali ogwomulundi ogwomunana ogwa International Interdisciplinary Women's World Congress ogwaliwo mu July, 2002 nemirala emitonotono mingi.

EBIKYATULEMESEZA

Ebula lye nsimbi likyalemeseza NVIWODA okutukiriza ebyo byetekeddwa okukola.

Obutaba na kifo kituufu wetuteeka ettendekero ly'ebyebusuubuzi ne tekinologiya.

Olwenkulakulana ey'amanyi mu bya tekinologiya, NVIWODA telina bikozesebwa mu 0ffice okusobola okufuna mu bwangu ebikwata ku tekinologiya wamu n'okubituusa amangu ku bakyala, basobole okubiganyulwamu.

Ekibiina tekilina bakugu my bya tekinologiya era kisinga kwesigama ku bapangise basobole okusomesa abakyala ate nga emirundi egisinga batwala sente nyingi. Ate olumu tetusobola kubafuna mu kiseera wetubagalira.

Olwobutaba na ntambula NVIWODA tesobodde kutukilila bakyala bangi era kigilemeseza okutukiliza ebigendererwa byayo. Era nobutasobola kulondola abo ababa baweredwa sente, wamu nokwongera okusomesa abakyala abalala.