Above: Mu mwaka gwa 1989, Muky. Rose Mukasa yenyigira mukukola Sanitary Towel okusobola okuyamba abawala n'abakyala, okwekuuma nga bayonjo).

Below:
Abakyala ba NVIWODA nga bayolesa ebitone byabwe, mukukola emigatte ne kkeeke ebye'mikono ne sanitary towel.



Above:
Abakyala ba NVIWODA nga bayolesa ebitonne byabwe mu kuyimba, okuzina n'e mizannyo.

 

 

Homepage

 About us   Programmes   The Future 



 

EBITUKWATAKO/ EBYAFAAYO BYAFFE


Ekiibina e'kya Ntulume Village Women's Development Association, kyatandiikibwawo mumwaka ogwa 1987. Ngakikulemberwa Mukyala Nyarwa Cissy, Majanja Zaali, Maria Kagusuuru, Ngalambe Charlottee, Akuwulira Elizabeth, Lwanga Florence awamu nabakyala abalala.

Mukiseera ekyo e'kibiina bwekyantandiikibwawo, abakyala banno, baali babeera ku kyalo kyebayita Ntulume mu Namirembe/Bakuli Parish, mu Lubaga Division, Kampala District, era kwekubbulamu erinnya ly'ekibiina "Ntulume Village Women Development Association. (NVIWODA).

Ebbanga ly'emyaka 1987 ne 1991, gyali jja kunonyereza engeri ey'okutandiika ekiibina era nga bwekinaakulakulana n'okwewandiisa nga ekibiina ekyanakyewa.

EBIGENDERERWA BYAFFE BYALI

i) Okukumakuma, okusomesa, n'okukulakulanya abakyala bo mukitundu basobole okubako byebakola eby'omugaso mugwanga.
ii) Okuzibula amaaso g'abakyala, okuyita mukubasomesa okubazzaamu obugumu, nga beyambisa emikisa gyabwe ng' abakyala mukukulakulana.
iii) Okukubiriiza' abakyala okukolera wamu n'okweyigirako basobole okwezimba.

Ekibiina kyatandiika mpolampola, ngatuva nnyumba ku nnyumba ezaali mu kyalo kya Ntulume ekiseera ekyo, nga tukunga abakyala okutwegatako mu mbeera zo bufuzi bwe'ggwanga, nokwekulakulanya awamu ne mumbeera za bakyala ezabulijjo.

Okuyita munkungaana (munkiiko) abakyala bazuula engeri gyebayinza okukulakulanamu okuyita mubitone nga okuluka emikeeka, ebitambala, okufumba emigaati ne kkeke (cake) ngabeyambisa tekinologiya eye mikebe n'omusenyu nga oveni.

Abakyala batandiika ne kapito yabwe ya shillings 50/= buli member , buli lwebakungananga. Essente ezo zakozesebwa nga okugula matiriyo (Raw materials) ez'okukozesa ebintu byabwe.

Mumwaka 1991, NVIWODA yenyigira mumpaka z'okuyimba, okuzina n'emizanyo mu Namirembe/Bakuli Parish, era n'evaayo nga ewangude. Mukuwangula empaka zino yafuna ebirabo bino wammanga.

Ebidomola bibiri bya mazzi , ettaala emu , ebikebe bibiri ebya butto, essowaani za plastic.
Ebirabo ebyo ebimu byatundibwa netufunamu essente eziwera Ug. Shs. 6,000/=, Essente zino zatuyamba okusobola okutandikawo ebintu ebirala, mwetwajja essente' zo kutukulakulanya nga project ya Sanitary Towels.

Mukuyita mukuyambagana abamu ku bakyala basonda essente ne tusobola okuzimba office ya bisenge bibiri era n'okutuusa kati we tukyakolera emirimu gyaffe.